Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ali mu maziga ku by’okutta omuntu we.
Bobi agamba nti omugenzi Lochoto Ambrose Machete, abadde ssentebe w’ekibiina mu disitulikiti y’e Kaabong era yattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.
Ng’asinzira ku mukutu gwa Twitter, agamba nti Machete yattiddwa abasirikale mu bitongole ebikuuma ddembe bwe yabadde ava okulaba omupiira.

Bobi n’omugenzi

Bobi agamba nti yafunye amawulire nti Mechete yagobeddwa abasirikale okutuusa lwe yattiddwa oluvanyuma ne batwala omulambo gwe mu ggwanika.
Mungeri y’emu alaze waliwo amawulire agali mu kutambula nti omugenzi abadde mulwanyi okuva mu Turkana nga yattiddwa mu bulumbaganyi.

Omugenzi Lochoto Ambrose Machete

Alemeddeko nti abawagizi baabwe bangi nnyo battiddwa mu bitundu bye Northern Uganda, okugezaako okutiisa abantu.
Agamba mu West-Nile, Lango, Acholi ne Karamoja, abawagizi baabwe batambulira mu kutya.


Asabye okunoonyereza okutuusa nga omuntu waabwe Machete afunye obwenkanya.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=e3Q6e7woPks&t=4s