Kyaddaki Poliisi evuddeyo ku by’okutta Lochoto Ambrose Machete, abadde omutuuze mu disitulikiti y’e Kaabong.

Okusinzira ku Pulezidenti w’ekibiina ki NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), Machete yabadde ssaabakunzi w’ekibiina ki NUP e Kaabong.

Omugenzi Machete

Bobi ng’asinzira ku mukutu gwa ‘Twitter’, agamba nti Machete yattiddwa abasirikale mu bitongole ebikuuma ddembe bwe yabadde ava okulaba omupiira.

Bobi agamba nti yafunye amawulire nti Mechete yagobeddwa abasirikale okutuusa okumpi n’amakaage webaamutidde amasasi oluvanyuma ne batwala omulambo gwe mu ddwaaliro okubuzabuza obujjulizi.

Bobi Wine

Mungeri y’emu agamba nti yattiddwa, nga bamuteebereza okuba nti mubbi, w’ente mu kitundu ekyo.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agamba nti kituufu Machete yattiddwa abasirikale bwe yagudde mu ‘Ambush‘ ku kyalo Kapalani y’okunoonya ababbi b’ente aba Kalamoja ku ssaawa nga 6 ez’ekiro.

Fred Enanga

Enanga agamba nti okunoonyereza kutandiise okuzuula oba naye yabadde omu ku babbi era asabye abakulembeze okuggya eby’obufuzi mu nsonga ezo.

Eddoboozi lya Enanga

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=im90Byh59lo