Poliisi ekutte omusajja Ssedduvutto ku misango gy’okusobya ku mwana omuto myaka 4.

Ssedduvutto Emmanuel Okori myaka 45 ng’akola emirimu egy’enjawulo, asikaali wa Madhvani group ate mutemi wa bikajjo mu Tawuni Kanso y’e Kakira mu disitulikiti y’e Jinja yakwatiddwa.

Okori, nga mutuuze ku kyalo Nairo cell mu Tawuni Kanso y’e Kakira, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri ku ssaawa 9, yakutte omwana namutwala mu kazigo mwasula, bwe yabadde amaze okumuwa Chapati ya shs 500.

Nga wayise eddakika, omukadde Auma Neko myaka 70 omu ku bakeera okulongoosa Tawuni Kanso y’e Kakira, yawulidde omwana akaaba nga yetaaga obuyambi, okutuuka mu kazigo, nga Okori ali bwereere, ali ku mwana amusobyako.

Amangu ddala Okori, yasabye omukadde ekisonyiwo era yakutte omusawo okumuwa omukadde Neko ssente shs 5,000, okusirikira ekyama.

Wabula omukadde Neko yakubye enduulu, eyasombodde abatuuze n’okuyita Poliisi era amangu ddala Okori yakwatiddwa.

James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kira, agamba nti Okori akuumibwa ku kitebe kya Poliisi e Kakira.

Mubi agamba nti Okori aguddwako emisango gy’okusobya ku mwana omuto n’okwenyigira mu kuwa enguzi ya shs 5,000 era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=GVIcS7t3sOg