Munnakibiina ki National Unity Platform (NUP) era Kamiinsona wa Palamenti Mathius Mpuuga, alameddeko era asekeredde abalowooza nti ayinza okuva mu NUP.

Mpuuga ng’asinzira ku Palamenti enkya ya leero, agamba nti y’omu ku batandikawo NUP nga tayinza kuva mu kibiina, kyeyatandikawo.

Agamba nti tewali muntu yenna ayinza kumusindikiriza kuva mu NUP wabula agenda kweyambisa obudde bwe, okwetaba mu kkampeyini y’okutereeza ekibiina omuli n’abo, abegumbulidde okweyambisa emitimbagano okulumbagana abakulembeze ssaako n’okubavuma.

Mpuuga mungeri y’emu alemeddeko nti ye ng’omuntu talina musango gwonna ku bya ssente ebimwogerwako, nga n’abagamba nti alina omusango, balemeddwa okweyambisa amateeka, okulaga ensi kuba naye sipakere mu nsonga z’amateeka.

Ng’omukulembeze, Mpuuga agamba nti agenda kwenyigiramu nnyo mu kuzimba ekibiina kuba kiswaza nti mu kiseera kino ekibiina ki NUP bali mu kwerumaruma, nga ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, asobodde okweyambisa omukisa ogwo, okulonda akakiiko k’ebyokulonda, okuleeta enkyukakyuka maggye ng’abo, bali mu kulwanira bitole bya mmere.

Mu kuzimba ekibiina, Mpuuga agamba nti betaaga enkyukakyuka mu

– Enkwata y’ensonga

– Enkwata y’ensimbi

– Enkwata y’obukulembeze

– N’empisa mu kibiina kuba mu kibiina kyabwe zikyali ntono nnyo

Ate n’okuleeta enkyukakyuka, bannayuganda abali mu nsi z’ebweru, okwetaba mu kulonda abakulembeze okusinga okulaga obuwagizi bwabwe nga bayita mu kutambuza ebiwandiiko ku mikutu migatta abantu n’okusonda ssente eri ekibiina kyabwe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=eA7YXUBdizY