Omukyala eyali yakwatibwa ku misango gy’okutta bba Tumwine Kasimu, ku kyalo Kikaaya, Kyebando, kyaddaki ayimbuddwa okuddayo okulabirira omwana we.

Mu kiro kya 20, July, 2020, omukyala Janat Nakibuuka yakuba essimu eyanyiza omusajja era amangu, omusajja yakwata essimu, nagikuba wansi ku ttaka, nga bweyebuuza ani gwayogera naye ekiro ekyo.

Mu kiro wakati mu kuyomba, kyavaako omukyala Nakibuuka okukwata akambe, keyafumita omusajja ku nsingo era yafuuwa omusaayi okutuusa lwe yafa.

Baneyiba okutuuka okutaasa, ng’omusajja amaze okufa.

Nakibuuka yasindikibwa ku limanda mu kkomera nga 5, October, 2020 era yaleka omwana wa myaka 6.

Mu kkomera e Luzira, amaze ku limanda ebbanga lya myaka 3, emyezi 7 n’ennaku 8 era omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Margraret Mutonyi, amuyimbudde.

Omulamuzi Mutonyi agamba nti Nakibuuka  wadde yatta bba, yakikola mu butanwa nga kivudde ku musajja okumusomooza ennyo.

Amusingisiza omusango era amusalidde okusibwa ebbanga lya myaka 3, emyezi 7 n’ennaku 8, ebbanga ly’amaze ku limanda era alagiddwa ayimbulwe  okusobola okuddayo okulabirira omwana we.

Omulamuzi mu kuyimbula Nakibuuka, alabudde abantu bonna okutwalira amateeka mu ngalo n’okusaba abantu okwawukana singa bafuna obutakaanya okusinga okwetta.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=3RlTPVnyMCg