Abakungubazi bakulukusizza amaziga, taata Gerald Mayanja bw’abadde ayogera amazima ku mutabani we, omugenzi Humphrey Mayanja.

Humphrey yafa ku Lwomukaaga era yaziikiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu e Kalangaalo e Mityana.
Okuziika, kwetabiddwako abantu bangi nnyo omuli abayimbi, bannakatemba, bannabyabufuzi, mikwano gy’omugenzi ne mikwano gya famire ssaako n’abatuuze b’oku kyalo.

Omugenzi Humphrey

Wabula ku taata Gerald Mayanja agamba nti wadde akuliridde mu myaka, abadde talabangako mulwadde ng’ali mu bulumi nga mutabani we Humphrey.
Humphrey yafudde Kkansa w’omu lubuto era kigambibwa obulwadde bumulumidde emyezi mwenda (9) nga kigambibwa yabuzuula kikeerezi.


Taata Mayanja agamba nti alambudde abantu bangi nga balwadde ku myaka gye naye obulwadde bulumye Humphrey.
Agamba Humphrey yabadde amaze okusaba aba famire nawumule kuba yabadde akooye obulumi.


Okubyogera ng’abantu bali mu maziga kyokka yasobodde okusiima abantu bonna abakoze ebintu eby’enjawulo, okusobola okuziika mutabani we Humphrey mu kitiibwa.
Humphrey abadde mukulu wa famire yonna omuli abayimbi Dr Jose Chameleone, Pallaso, Weasel Manizo n’abalala.

Eddoboozi lya Taata Mayanja

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=3RlTPVnyMCg&t=6s