Kkooti etaputa sseemateeka egobye eky’okusaba, okusazaamu etteeka ly’okulwanyisa ebisiyaga mu ggwanga erya Anti-Homosexuality Act 2023.
Abalamuzi ba kkooti 5 nga bakulembeddwamu amyuka ssaabalamuzi Richard Butera, bawakanyiza ebigambibwa nti etteeka, lityoboola sseemateeka w’eggwanga.
Mu kiwandiiko ekyawamu ekisomeddwa Butera, agamba nti bonna abalamuzi bakaanyiza ku nsonga zezimu era bagobye ensonga 13 ku 14 zebatwala mu kkooti.
Mu nsala y’abalamuzi, bawakanyiza ebigambibwa nti etteeka ly’otyoboola eddembe ly’obuntu ssaako n’okulemesa abantu okukola ebyabwe mu nkukutu.
Abalamuzi bagamba nti etteeka, teriwa lukusa muntu yenna wadde ekitongole kyonna ekiswasiza amateeka, okumala gayingira mu nnyumba y’omuntu yenna.
Abalamuzi era bagambye nti etteeka ly’ebisiyaga, terisobola kulemesa muntu yenna kukola mulimu gwe wadde okutandikawo omulimu gwonna.
Bagamba nti etteeka, ligendereddwaamu okukuuma ennono z’abantu n’okutangira emikutu gy’empuliziganya, okuwandiika oba okuwereza ebintu ebiyinza okumenya amateeka.
Abalamuzi era bagamba nti etteeka ku biyiyaga lyaletebwa okutangira abaana abato abali beyongedde okweyingira mu bikolwa ebyo, nga babuzabuziddwa.
Bagobye ebigambibwa nti Palamenti mu kuyisa etteeka, benyigira mu kumenya amateeka.
Pulezidenti Museveni yateeka omukono ku tteeka ly’ebisiyaga nga 26, May, 2023.
Wabula abalamuzi era bakaanyiza era waliwo obuwayiro obugobeddwa mu tteeka.
Akawayiro (Section) 14, kkooti ekagobye
Omuntu yenna okugenda ku Poliisi okutegeeza nti gundi musiyazi, ekyo kimenya amateeka, okusinzira ku balamuzi.
Section 11, akawayiro 2(D) mu tteeka ly’ebisiyaga
Etteeka libadde likwata omuntu yenna singa apangisa ennyumba eri abantu ne benyigira mu kulya ebisiyaga, abadde alina omusango wabula abalamuzi bonna bakaanyiza nti omuntu yenna singa apangisa ennyumba ye, taba na musango singa abapangisa badda mu kulya ebisiyaga.
Ate akawayiro 3 akatundu (2C)
Etteeka ly’ebisiyaga, singa omuntu yenna akwatibwa nga yeenyigidde mu kikolwa n’omwana omuto, omuntu aliko obulemu, omuntu nga mulwadde wa mutwe, omukadde, omuntu singa kizuulibwa nga yali akubiddwa ebiragalalagala, atamidde oba nga yali ku ddagala, omuntu yenna aba akoze ekikolwa, abadde wakuwanikibwa kalaba.
Mu tteeka ly’ebisiyaga, singa omuntu yenna yenyigira mu kikolwa, nasiiga omuntu obulwadde bwa siriimu, naye abadde alina kuwanikibwa kalaba.
Kkooti egamba nti ekyo, kimenya sseemateeka kuba abantu bangi, bagenda mu kikolwa nga tayinza kutegeera oba mulwadde oba nedda.
Abamu kwabo abaddukira mu kkooti nga bawakanya etteeka, nga banokolayo ensonga omuli okusosola abasiyazi mwe muli omubaka wa West Budama Fox Odoi, abasomesa okuva ku Yunivasite e Makerere mu Dipatimenti y’amateeka okuli Professor Sylvia Tamale ne Dr. Busingye Kabumba saako munnamatteeka, omulwanirizi w’eddembe Nicholas Opio, Andrew Mwenda n’abalala.
Mu kkooti, baasaba abalamuzi etteeka ku bisiyaga okusazibwamu naddala ng’abantu abeenyigidde mu kulya ebisiyaga bakulu ekimala ate nga bakiriziganyiza.
Bagamba nti etteeka lino nga ogyeko okubeera n’ebibonerezo ebikambwe, omuli okutta abenyigidde mu kulya ebisiyaga n’omutango omunene , ekityoboola eddembe ly’obuntu.
Wabula abaddukira mu kkooti, nga bawakanya etteeka bagamba nti bayinza okweyongera mu kkooti ensukkulumu okuwakanya ebisaliddwawo kkooti enkya ya leero.
Bagamba nti kkooti yesigamye nnyo ku bigambo by’abantu okusinga okusoosowaza ensonga y’amateeka.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=WP-x9T57kLU&t=248s