Akulira ekibiina kya National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssetamu amanyikiddwa nga Bobi Wine asomoozesa gavumenti okuta abawagizi be bweba erowooza nti bwebabeera mu kkomera alina kyakifunamu.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, ku Eid, Bobi Wine yasobodde okuyita famire z’abannakibiina abali mu kunoonya abantu baabwe nga n’abamu bali makkomera, okulya nabo Eid wali mu makaage e Magere.

Kyagulanyi Ssentamu mu makaage e Magere

Bwe yabadde ayogerako ne bannamawulire, yavuddemu omwasi ku bigambo by’abantu abali mu kutambuza ebigambo ku basibe abali makkomera.

Kyagulanyi yatabukidde Minisita w’abaana n’abavubuka Balaam Barugahara Ateenyi okugamba nti bannakibiina ki NUP okusigala mu kkomera, Bobi Wine ng’omuntu akifunamu nnyo okugenda mu nsi z’ebweru okusaba obuyambi.

Minisita Balaam

Balaam agamba nti Bobi Wine yasobola okutaasa abantu be okuva mu kkomera omuli muyimbi munne Nubian Li, Eddie Mutwe n’abalala kyokka alemeddwa okutaasa abalala abali makkomera okuvaayo ng’ali kuzannya byabufuzi.

Kyagulanyi bwe yabadde ayanukula abagamba nti  alina kyafuna mu kyabawagizi be abamaze emyaka essatu (3) mu kkomera so nga waliwo n’abatamanyiddwako mayitire, yasabye gavumenti okuta abawagizi be bonna bweba erowooza nti bwebabeera mu kkomera alina kyakifunamu.

Kyagulanyi agamba nti bwe kiba abasibe abakozesa nga bizinensi okufuna ssente, asabye Gavumenti okuta abantu be, bizinensi ye esobole okugwa.

Eddoboozi lya Bobi Wine

Olunnaku olw’eggulo ne Jjajja w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge Kakungulu yasabye Gavumenti okuyimbula abantu bonna abali makkomera nga baakwatibwa olw’ebyobufuzi.

Jjajja Nakibinge agamba nti okulonda kwa 2026 kusembedde nga kiswaza okugenda mu kalulu nga waliwo abakyali makkomera ku nsonga zezimu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=DMiX7AWOovs