Omuyimbi Eddy Kenzo abotodde ebyama wakati we ne Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’obugagga eby’omu ttaka Phiona Nyamutoro.
Nyamutoro, mubaka wa Palamenti akiikirira abavubuka mu Palamenti okuva mu kibiina ki National Resistance Movement (NRM).

Minisita Nyamutoro

Baludde nga balina enkolagana ne Eddy Kenzo omuli n’okuyambako ku nsonga z’abayimbi mu Palamenti okulaba nga bafuna etteeka ku biyiiye erya Copy Right.
Ebigambo bizze byogerwa nti Kenzo ne Nyamutoro, balina enkolagana ey’enjawulo ng’abantu abali mu laavu.
Omwezi oguwedde, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, yasobodde okulonda Nyamutoro nga Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’obugagga eby’omu ttaka.


Nyamutoro bwe yabadde agenda mu State House okulayira, yawerekeddwaako Kenzo era yasobodde okusaba Pulezidenti okufuna ekifaananyi wakati we ne Kenzo.
Mu kiseera nga bangi ku bannayuganda bakyebuuza enkolagana wakati wa Kenzo ne Nyamutoro, nate ebyama bivuddeyo.
Kenzo bw’abadde ku Comedy Store Uganda mu Kiro ekikeseza olwaleero e Lugogo, awadde abadigize essanyu.
Agambye nti alina omwana ne Minisita Nyamutoro ng’akabonero akalaga nti mukyala we era tewali kubusabuusa kwonna.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=DMiX7AWOovs