Kyaddaki kkooti enkulu mu Kampala ewuliriza emisango gya naggomola, ekakasiza emisango 9 egy’abantu abakwatibwa ku by’okutta eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Andrew Flex Kaweesi.

Kaweesi yattibwa n’omukuumi we Kenneth Erua ne ddereeva Godfrey Wambewo nga 17, Ogwokusatu, 2017 e Kulambiro mu Kampala okumpi n’amakaage.

Enkya ya leero, Omulamuzi Alice Komuhangi akakasiza emisango ku bantu 8 abaakwatibwa era kati balinze kwewozaako.

Munnamateeka Geoffrey Turyamusiima, oluvudde mu kkooti, ayogeddeko naffe era agamba nti bali ku misango omuli obutujju, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju, okuba Bamemba ba ADF n’emirala.

Abavunaanibwa mwe muli

– Yusuf Siraje Nyanzi aka Jimmy Ssentamu

Abdul-Rashid Mbaziira

– Aramanzani Noordin Higenyi aka Taata Abdullazack

Yusuf Mugerwa aka Wilson

– Brugan Balyejusa aka Jimmy Masiga Ogutu

Joshua Magezi Kyambadde aka Abdu Rahman

–  Jibril Kalyango aka Abu Aisha ne

– Shakif Kasujja, eyagaana okudda mu kkooti bukya akkirizibwa okweyimirirwa era waliwo ebigambibwa nti yaddayo mu ADF.

Kigambibwa wakati wa January ne March, 2017 mu Kampala, Wakiso, Mukono, Jinja, Iganga, Bugiri, Busia ne Tororo, bapaanga okutta Kaweesi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=OQPmpmN4GvQ