Kyaddaki Ahmed Ssenfuka ayimbuddwa enkya ya leero kakalu ka kkooti ka bukadde 2 ezobuliwo mu kkooti e Nakawa wansi w’omulamuzi Noah Ssajjabi.

Ssenfuka y’omu kwabo abakwatibwa by’okutta eyali mwogezi wa Poliisi mu ggwanga lino Andrew flex Kaweesi, nayimbulwa kakalu ka kkooti omwaka oguwedde ogwa 2017 nga 7, Novemba, kyoka oluvanyuma nakwatibwa ebitongole ebikuma ddembe ku nkulungo ya  Spear Motors mu Kampala era nagulwako ogw’obutujju, oluvanyuma nasindikibwa e Nalufenya okumala ennaku.

Ssenfuka ng'akwatibwa
Ssenfuka ng’akwatibwa

Ssenfuka ng’akulembeddwaamu munnamateeka we Anthony Wameli, baduukira mu kkooti y’e Nakawa okusaba okweyimirirwa era omulamuzi nakiriza okusaba kwe ku bukadde 2 ez’obuliwo, nasasula sabiti ewedde ku lunnaku olwokutaano era ayimbuddwa enkya ya leero ku Lwokubiri.

Ssenfuka wadde ayimbuddwa, alagiddwa okudda mu kkooti omwezi ogujja ogwokubiri nga 6, 2018.