Sipiika wa Palamenti Anita Among, asigadde yebuuza abasuubuzi gye bagenda okuddukira singa basisinkana omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni olunnaku olwaleero ne balemwa okukaanya ku nsonga zaabwe.

Abasuubuzi balina ensonga y’emisolo egisukkiridde ssaako n’okuwakanya enkola eya EFRIS era leero ku ssaawa 4 ez’okumakya, bagenda kusisinkana Pulezidenti Museveni mu State House, Entebbe.

Wabula Sipiika Among agamba nti Pulezidenti, ye muntu mu ggwanga asembayo nga singa balemwa okukaanya, bagenda kuddukira wa, wa Katonda?

Avuddemu akaseko ku ky’abasuubuzi okugenda mu State House kyagamba nti bannayuganda balina okwesiga ebitongole bya Gavumenti kuba Palamenti esobola bulungi nnyo okukola ku nsonga z’abakozi nga bwe yakola ku bakozi b’ekitongole ki KCCA nga tebagenze mu State House, abasuubuzi gye basuubira essuubi.

Sipiika Among okulabula, Minisita omubeezi ow’ebyensimbi Amos Lugoloobi abadde ayanjulira Palamenti alipoota eyavudde mu nsisinkano y’abakulembeze ku nsonga z’abasuubuzi.

Mu nsisinkano ku Lwokubiri yabaddemu abakulembeze b’abasubuuzi, ab’ekitongole ekiwooza omusolo ekya URA n’abakulu mu Minisitule y’ebyensimbi.

Minisita Logoloobi, agamba nti enkola eya EFRIS tegenda kuvaawo kuba Gavumenti yetaaga ssente okutambuza eggwanga wabula bagenda kusomesa abasuubuzi okusobola okugitegeera obulungi.

Mungeri y’emu agamba nti bakaanyiza, okuteeka offiisi ya URA mu Kikuubo, Kampala, buli musuubuzi yenna alina okwemulugunya ku nsonga y’emisolo ne EFRIS gye bayinza okuddukira okwebuuza.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=8hKq3UhEFCQ