Omuyimbi Winnie Nwagi avuddeyo ku bigambo ebiri mu kutambula eby’omusajja ayagala okulaba ku mwana we.

Okuva wiiki ewedde, omusajja eyeeyita Bizzy Nateete agamba nti Nwagi yali muganzi we era mu kiseera ekyo, yafuna olubuto era nazaala omwana we omuwala.

Bizzy Nateete, Winnie n’omwana ayogerwako

Bizzy Nateete agamba nti yali mulenzi muto nga talina bulungi ssente era mu kiseera ekyo, eby’omukwano tebyatambula bulungi.

Agamba nti wadde Nwagi mu kiseera kino alina erinnya ne ssente, alina okumuwa omukisa okulaba ku mwana we kuba nga taata alina obulumi ku mutima.

Wabula aba Swangz Avenue bavuddeyo ku bigambo bya Bizzy Nateete.

Okusinzira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa, Nwagi agamba nti ebigambo ebyo byonna byabulimba era bigendereddwaamu okutatana erinnya lye.

Ekiwandiiko kiraga nti Bizzy Nateete ayagala kugezaako okweyambisa omukisa ogwo, okuvaayo mu kisaawe ky’okuyimba kuba akyali muyimbi muto.

Basuubiza okumutwala mu kkooti ku misango gy’okutatana erinnya lya Nwagi.

Mu kiwandiiko era Nwagi agamba nti ebigambo bya Bizzy Nateete byongedde okutyoboola eddembe lya muwala we ku ssomero, ekintu ekimenya amateeka.

Agamba nti vidiyo eziri mu kutambula nga Bizzy Nateete alaga nti yaliko mu maka ga Nwagi, byonna bulimba nga kirowoozebwa vidiyo yazikwatira mu kitundu kirala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=8hKq3UhEFCQ