Poliisi y’e Busoga East eri mu kunoonya omusajja Alimansi Kigundu ali myaka 50 ku misango gy’okutta mukyala we Alisati Naikoba abadde mu gy’obukulu 40.
Kigundu abadde mutuuze ku kizinga kye Namoni mu ggoombolola y’e Malongo mu disitulikiti y’e Mayuge.
Okunoonyereza kulaga nti Kigundu ne mukyala we Naikoba baludde nga balina obutakaanya nga buli omu, alumiriza munne nga bw’asukkiridde obwenzi.
Naikoba abadde agamba nti bba Kigundu alina abakyala eb’enjawulo era ayinza okuleeta ebirwadde nga n’omusajja agamba nti, omukyala asukkiridde obwenzi.
Wabula Kigundu, yafumise mukyala we akambe mu lubuto era yamulese agudde wansi ng’ataawa.
Baneyiba webatuukidde okutaasa ng’omukyala z’embuyaga ezitunta wakati mu kitaba ky’omusaayi.
Peter Bampalana, ssentebe ku kizinga kye Namoni agamba nti obutabanguko mu maka busukkiridde era agamba nti kivudde ku bbula ly’emirimu mu kitundu.
Agamba amaggye ku nnyanja okulemesa abatuuze okuvuba, bangi kati tebalina mirimu.
Diana Nandawula, omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo ekya Busoga East, agamba nti Poliisi eyungudde basajja baayo okunoonya Kigundu ku misango gy’obutemu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=YMrgtGMGiGc