Poliisi y’e Mityana ekutte ssentebe w’ekyalo Kibubula B Cell mu Tawuni Kanso y’e Busunju mu disitulikiti y’e Mityana ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.

Ssentebe Mukasa Muhammed myaka 50 yakwatiddwa ku by’okusobya ku mwana myaka 14 mu March, 2024 mu Saluuni y’enviri mu katawuni k’e Busunju.

Kigambibwa, maama w’omwana yali yamutwala okuyiga okusiba enviri.

Okunoonyereza kulaga nti Mukasa yasendasenda omwana era yamusobyako emirundi egiwera omuli n’okumuwa emu ku saluuni ze, okulaga nti amwagala nnyo.

Racheal Kawala

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Racheal Kawala, okunoonyereza kutandikiddewo nga n’omwana, abasawo basobodde okumwekebejja.

Kawala era agamba nti Poliisi, esobodde okwekebejja ebifo, Mukasa gye yali atwala omwana, okumusobyako.

Kigambibwa Mukasa, yasobola okweyambisa embeera y’omwana ey’okunoonya ssente ez’okulya, okusula n’okutambula, okumusendasenda okumusobyako enfunda eziwera.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=BO5UidKFwPE&t=5s