Eyali RCC wa Lubaga Anderson Burora Hebert myaka 37, azziddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa ku Lwokutaano nga 12, July, 2024.

Burora alabiseeko mu maaso g’omulamuzi Ronald Kayizzi ku misango egimuvunaanibwa 2 okuli

Okwogera ebigambo ebisiiga  obukyayi mu ggwanga

Okusiiga enziro

Kigambibwa Burora wakati wa March ne June, 2024 mu bitundu bya Kampala, ng’ayita ku mukutu gwa Twiter (X), yawandiika ebigambo ebivvoola n’okusiiga obukyayi sipiika wa Palamenti Annet Anita Among.

Mu kkooti enkya ya leero, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbika, lusabye okuboongera obudde, okuleeta obujjulizi bwonna ku bigambo bye ku X, ekitabudde bannamateeka ba Burora, nga bakulembeddwamu David Kamukama ku kye bayise okutyoboola eddembe ly’omuntu waabwe.

Omulamuzi, akkiriza okusaba kwabwe era bwatyo, ayongezaayo omusango okutuusa 12, July, 2024 era Burora, azziddwa ku limanda mu kkomera e Luzira.

Ku Lwokutaano, era omulamuzi lw’agenda okuwuliriza okusaba kwa Burora, okweyimirirwa.

Burora twakwatibwa nga 1, July, 2024 okuva makaage e Ntinda.

Ebirala ebyavudde mu kkooti – https://www.youtube.com/watch?v=C1dED6sANX8