Abatuuze nga bali wamu ne Poliisi baddamu enkya ya leero okunoonya emirambo mu bitundu bye Lusanja – Kiteezi.
Olunnaku olw’eggulo ku Mmande, Poliisi yalemereddwa okukola omulimu gwonna nga kivudde ku nkuba eyatonye olunnaku olw’eggulo.
Wadde ssaabaminisita Robinah Nabbanja yasuubiza nti gavumenti egenda kukola kyonna ekisoboka okutuusa nga bazudde emirambo gyonna, nate omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago avudde mu mbeera olwa Poliisi n’amaggye ate okusindikiriza abatuuze.
Lukwago agamba nti Poliisi n’amaggye balina okweyambisa abatuuze okutegeera amaka g’abantu abali wansi, okusobola okunoonya emirambo.
Yo Poliisi esobodde okufulumya amannya g’abantu abakazuulibwa nga mirambo omuli
1.Nasser
- Nuwary Kironde
- Sam Kajubi
- Meddy Mubiru
- Shamon Muhammed
- Halima Nakalume
- Mulikedete Phiona
- 3 months old baby of Mukadete
- Kasule James
- Mukose Emmanuel
- Grace daughter to Anne Maria
- Brenda Kawuki
- Sharon House maid to Brenda
- Kikambi Tiful
- Nantege Jesca
- Nalubega Easter
- Whitney Nabulya 3 years old.
- Kawesa
- Lwere Ronald 20 years
- Kiyemba
- Wife to Kiyemba
Ebigambo bya Lukwago – https://www.youtube.com/watch?v=Sue-2nwxYOM