Mu kisaawe ky’okuyimba, wadde abayimbi bakola nnyo okufulumya ennyimba, naye ba DJ nabo bakola omulimu gw’amaanyi okutambuza ennyimba mu bbaala, kirabu, TV, Radio n’ebifo ebirala.
Mu Uganda, Jjumba Ibrahim amanyikiddwa nga DJ Magic Touch y’omu ku DJ afuuse ensonga mu Kampala.
Magic Touch, yazaalibwa nga 11, June, 2000 era yakulira mu bitundu bye Makindye, Kampala.
Ng’omuntu omulala yenna, Magic Touch yasomera massomero ag’enjawulo omuli Tele Tubis Nursery School, Quality Primary School ne Stella Hill School.
Okuva mu buto, yali mwana ayagala ennyo omuziki era ng’ali ku ssomero mu S2 gye yatandikira okutabula omuziki nga DJ.
Olwa talenti, yeegata ku Swat Entertainment era yali akuba nnyo omuziki ku mbaga, okwanjula n’emikolo emirala.
Mu 2020 yegatta ku 100.2 Galaxy FM era okuva olwo, y’omu ku ba DJ abasiinga amaanyi mu Kampala ne ggwanga lyonna.
Magic Touch, asobodde okukuba endongo ku bivvulu bya Galaxy byonna, Jinjera Kiro More, Smirnoff Campus Turn up, mu kirabu ez’enjawulo mu Kampala, ku bayimbi nga balina konsati omuli Fik Fameica, Lydia Jazmine, Carol Kasita, Fefe Busi n’obubaga obw’enjawulo
Magic Touch agamba nti yali ayagala nnyo DJ Magic Switch era y’emu ku nsonga lwaki yasalawo okweyambisa erinnya lya Magic.
Agamba nti ayagala kimu mu Uganda okuva DJ omu kw’abo aba 3 abasinga amaanyi mu Uganda.
Mu kiseera kino, Magic Touch ali mu kwetala kuba aba Talent Walls bakafulu mu kutumbula talenti z’abavubuka, bamutegekedde ekivvulu, okulaga nti ddala y’omu ku ba DJ abalina Work.
Ekivvulu kituumiddwa ‘The Magical Show’, Magic Touch agamba agenda kukyeyambisa okulaga ensi nti muvubuka ategeera kye bayita omuziki.
Ekivvulu kitwaliddwa ku Wonder World e Kansanga nga 14, September, 2024 era kiwagiddwa Kkampuni ez’enjawulo omuli Galaxy FM, Galaxy TV, Kagwirawo ne Kampuni endala.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=bwLVRdOEM3Y