Poliisi etandiise okunoonyereza ku mbeera egudde ku Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine).
Olunnaku olwaleero, Bobi Wine abadde agenze ku kyalo Bulindo mu Monisipaali y’e Kiira mu disitulikiti y’e Wakiso ng’abadde agenze ku mikolo mu maka ga munnamateeka George Musisi.
Kigambibwa wadde emikolo gitambudde bulungi, Bobi Wine bw’abadde addayo awaka, abawagizi be babadde bazze mu bungi okumubuzaako.
Embeera eyo, evuddeko okusika omuguwa wakati wa bannakibiina ki NUP ne Poliisi, ekivuddeko ttiyagaasi mu ngeri y’okubagumbulula.
Kigambibwa Bobi Wine akubiddwa ekigambibwa okuba essasi ku mugulu era amangu ddala atwaliddwa mu kalwaliro ka Najaeem Medical Centre e Bulindo okufuna obujanjabi obusookerwako.
Oluvanyuma atwaliddwa mu ddwaaliro e Nsambya.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, balina okunoonyereza okuzuula ekituufu ekibaddewo.
Abamu bagamba nti akubiddwa essasi, abamu balowooza nti akubiddwa akakebe ka ttiyagaasi wabula Poliisi egamba nti byonna balina okubinoonyerezaako.
Bobi ng’ali e Nsambya – https://www.youtube.com/watch?v=18fP8gjo98A