Bannakibiina ki FDC 36 ab’e Katonga, abali ku misango gy’obutujju,enkya ya leero, bakomezebwawo mu kkooti, okuddamu okutegezebwa emisango gyabwe, wegituuse mu kunoonyereza.
Nga 26, August, 2024, webaali basimbiddwa kkooti esookerwako e Nakawa, mu maaso g’omulamuzi Christine Nantege olw’omulamuzi Erias Kakooza okuba mu luwumula, bonna bategezebwa nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso.
Ku lunnaku olwo, munnamateeka waabwe Ssalongo Eria Lukwago, yawakanya
– Eky’okukwata abantu baabwe nga tewali bujjulizi nga ne mu kkooti, baleetebwa bali ku mpingu.
Mungeri y’emu yawakanya ekya kkooti, okusaba Ndaga Muntu, nga ekimu ku kiwandiiko eri omuntu yenna eyinza okusaba okweyimirirwa ate abasibe abali makkomera.
Emisango egyo, oludda oluwaabi lukulembeddwamu munnamateeka Richard Birivumbuka, era bagamba nti bbo, bakyalina obudde okunoonyereza nga sseemateeka abawa ebbanga lya myezi 6.
Abakwate okuli abakyala 3 abasigadde basajja, nga bakwatibwa mu ggwanga erya Kenya mu bitundu bye Kisumu wakati wa 22 ne 23, July, 2024.
Wabula aba FDC Katonga bagamba nti baali basindikiddwa mu ggwanga lya Kenya, okutendekebwa mu nsonga z’obukulembeze.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=nCfsIZmWMJs&t=3s