Bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku nsalawo ya kkooti eri bannakibiina, ababuzibwawo wakati wa 2019 ne 2020 nga banoonya bantu baabwe.
Famire z’abantu 18, baddukira mu kkooti enkulu, nga basaba kkooti, okulagira Gavumenti okuleeta abantu baabwe.
Abamu kwabo ababuzibwawo mwe muli
– John Bosco Kibalama – Okuva e Kanyanya nga 3, June, 2019
– Semuddu Micheal – Okuva e Kasubi nga 28, November, 2020
– Damulira John – Okuva Kisakka Market nga 21, December, 2020
– Nalumonso Vicent – Okuva e Bugolobi nga 1, December, 2020
– Lukwago Martin – Okuva e Bugolobi, nga 3, November, 2020
– Kanatta Muhhammed – Okuva e Mukono nga 23, December, 2020
– Sempija Yudah – Okuva e Mukono nga 19, December, 2020
– Mubiru Hassan – Okuva Kawaala, 20, November, 2020 n’abalala bangi.
Wabula bagamba nti omulamuzi wa kkooti enkulu Esta Nambayo, bwe yabadde awa ensala, agamba nti aba famire 18 bonna, balemeddwa okuleeta obujjulizi obulaga nti abantu baabwe babuzibwawo wadde okuleeta abaliwo nga batwalibwa era y’emu ku nsonga lwaki omusango gwagobeddwa.
Kati no, abakulembeze b’ekibiina ki NUP, balangiridde okujjulira ku nsalawo ya kkooti enkulu.
Bano, okuli Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, bannamateeka Shamim Malende, George Musisi n’abalala, bagamba nti ensalawo y’omulamuzi Esta Nambayo, kabonero akalaga nti ne kkooti kati ziweddemu ensa.
Bagamba nti bagenda kujjulira okwongera okunoonya abantu baabwe oba balamu oba bafu.
Ebirala ebifa mu ggwanga si bantu – https://www.youtube.com/watch?v=UmgeWXbwg2w