Hajji Ali Mwizerwa, eyakwatibwa ku misango gy’okusobya ku mwana we, muggya na nnyina myaka 14, agamba nti Allah, agenda kwanika omutuufu n’omulimba.

Hajji Ali nga mutuuze ku kyalo Bweya, Kajjansi, yakwatibwa olwa mukyala we Nakisuyi Zuula, okuvaayo mu lwatu ng’ali maziga, ng’amulumiriza okusobya ku mwana we.

Omukyala, agamba nti bba, omusango yaguzza wakati May and September 2024 wadde abamu ku baana, bagamba nti nnyabwe Zuula, yabakaka, okulumiriza kitaabwe, okusobya ku muganda waabwe.

Enkya ya leero, Hajji Ali, asimbiddwa mu kkooti esookerwako e Kajjansi, era ategeezeddwa nti emisango gye, bakyaginoonyerezaako.

Omulamuzi Karungi Doreen Olga ayongezaayo emisango, okutuusa nga 13, November, 2024 era Hajji Ali asindikiddwa mu kkomera e Kigo.

Bino byonna bigenda mu maaso wakati mu kkooti ebadde ekubyeko abantu ab’enjawulo.

Muhammad Nsereko – Munnamateeka wa Hajji Ali, agamba nti kiswaza okukwata omuntu yenna nga tebannaba kunoonyereza era agamba nti baddukidde mu kkooti enkulu, egenda okutuula nga 4, November, 2024, okuwulira okusaba kwabwe, okweyimirira.

Ate Hajji Ali, agamba nti Allah yekka yasigadde okwoleka omulimba.

Wadde mu kkooti, omukyala Hajji Zuula y’omu kwabo, abakedde okwekeneenya emisango gya bba, mikwano gya bba, giganda nti ye ssaawa okulwanyisa ababbi.

Bagamba nti Hajati Zuula atigomeza abasajja ab’enjawulo naye Hajji Ali, tagenda kubibwa – https://www.youtube.com/watch?v=UmgeWXbwg2w