ANTI WAAYA! Omukyala abadde alemesa bba okugikwatako akiguddeko, awonye vuvuzera okugyokya olwa bba okutabuka ekiro kiramba.

Poliisi y’e Kabalagala ekutte ssemaka ku misango gy’okwagala okutta mukyala we lwa waaya n’abaana be babiri (2) beyezaalira.

Kenga Mohammed nga mutuuze mu zzooni ya Willingi e Kansanga mu divizoni y’e Makindye mu Kampala yakwattiddwa ku misango gy’okwagala okutta kabiite we Nakalema Jane n’abaana omuli Mastula myaka 8 ne muto we Mariam myaka 6.

Okusinzira ku Poliisi, Kenga yafunye obutakaanya ne mukyala we ku ssaawa nga 4 ez’ekiro, oluvanyuma enju, yagikumyeko omuliro nga yeyambisa amafuta aga petulooli.

Abamu ku batuuze abagaanye okwatuukiriza amannya gaabwe, bagambye nti omusajja aludde ng’alumiriza mukyala we okusula mu kajjiini nga kamutipye okumulemesa okubaako kyakola ku nsonga z’omu kisenge okumala ebbanga, ekyavuddeko okuyombagana ‘anti waaya’.

Abatuuze bagamba nti okusika omuguwa wakati w’omusajja Kenga n’omukyala Nakalema kuludde okumala ebbanga erigenda mu myezi 5 nga buli omu alangira munne obwenzi.

Wabula Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti abatuuze ne Poliisi basobodde okutaasa abaana n’omukyala era bonna, batwaliddwa mu ddwaaliro e Nsambya nga bali mu mbeera mbi.

Onyango agamba nti Kenga ali ku Poliisi y’e Kabalagala ku misango omuli okwokya ennyumba n’okugezaako okutta abantu era essaawa yonna wakutwalibwa mu kkooti oluvanyuma lw’okunoonyereza.

Ate Poliisi mu disitulikiti y’e Oyam ekutte abantu babiri (2) ku misango gy’okutta omusajja myaka 51 ku kyalo Amulu-ngic mu ggoombolola y’e Aleka.
Abakwate abali ku kitebe kya Poliisi Oyam kuliko Martin Ogwang 41 ne Robin Ogwang 35 nga bonna batuuze ku kyalo Amulu-ngic ku by’okutta Santa Adong okuva mu kika kye Liira lwa bwenzi.

Abakwate bakwattiddwa Poliisi y’oku kyalo Aleka enkya ya leero ne batwalibwa ku kitebe kya Poliisi Oyam.
Poliisi egamba nti ekyanoonya abantu abalala omuli Walter Olang, ssentebe w’ekyalo Amulu-ngic Alex Odongo abaliira ku nsiko mu kiseera kino.
James Ekaju, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya North Kyoga agamba nti abakwate bali ku misango gya butemu era essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti oluvanyuma lw’okunoonyereza okuggwa.