Okwekalakaasa enkya okulemesa Pulezidenti Museveni okulayira, Poliisi ereese Bakomanda ku nguudo okunyweza ebyokwerinda.

Poliisi egudde mu lukwe nti waliwo abategese okwekalakaasa olunnaku olw’enkya ku Lwokubiri nga bawakanya obuwanguzi bwa munna National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni ku bukulembeze bw’eggwanga lino.

Okusinzira ku Poliisi, okwekalakaasa kwakutandikira mu Kampala n’emirirwano era abategese okwekalakaasa kuno, bali mu kunga bantu nga beyambisa emikutu migatta bantu n’okutimba ebiwandiiko, ebisaba abantu okubegatako mu Kampeyini etuumiddwa ‘Time is Now, M7 Tajja Kulayira’.

Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agamba nti ebitongole ebikuuma ddembe byongedde okwetekateeka, okwenganga, abasuubira okutabangula eggwanga olunnaku olw’enkya.

Audio Luke

Poliisi egamba nti omuntu yenna anagezaako okwekalakaasa tewali kumuttira ku liiso wabula okumukwata okutwalibwa, mu mbuga z’amateeka.

Abamu ku bannayuganda bagamba nti ebitongole ebikuuma ddembe okukwata abantu ate ne balemwa okubatwala mu kkooti, y’emu ku nsonga lwaki bekyaye nga balowooza kwekalakaasa.

Okusinzira ku Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odongo, Gavumenti erina abantu 177 abali mu mikono gyabwe ng’abantu 43 baakwatibwa lwa kwekalakaasa, 156 lwakusangibwa n’ebintu by’amaggye, 17 baakwatibwa nga batekateeka kwekalakaasa oluvanyuma lw’okulonda ate abantu 6 bayimbulwa kakalu ka Poliisi.

Wabula mu mbeera y’abantu abazze bakwattibwa, omuwala Judith Nisiima ali mu gy’obukulu 18 nga mutuuze ku kyalo Kitunzi mu Zzooni y’e Lunguja, ali maziga, ng’agamba nti bba Mujulizi Junior, bamutwala mu kwekalakaasa okwali mu Kampala mu November, 2020, Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) bwe yali akwattiddwa mu disitulikiti y’e Luuka wakati mu Kampeyini nga yesimbyewo ku bwa Pulezidenti mu kulonda kwa 14, Janwali, 2021.

Judith Nisiima myaka 18

Nisiima agamba nti bukya bba akwattibwa, embeera gy’alimu tayinza kujjaguza olunnaku lw’abakyala mu nsi yonna olwaleero.

Bw’abadde awayamu naffe, Nisiima awanjagidde omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuyingira mu nsonga ze, kabiite we okudda awaka okutambuza ensonga z’amaka ng’nnaku zino, buli kintu kibuuza.

Mu kwekalakaasa nga 18, November, 2020 Poliisi egamba nti abantu abasukka 30 battibwa ate bangi bali makkomera mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo n’okusingira ddala abavubuka.