Olukiiko olufuzi olw’ekibiina ki Democratic Party (DP), batudde olwaleero okusalira amagezi ensonga ezibadde zigulumbya ekibiina omutwe.
Bano bakkaanyizza obutasimbawo muntu mu kuvuganya kw’omukulembeze w’eggwanga okwa 2021, wabula bawagire oyo anaabeera akkaanyiziddwako oludda oluvuganya.

Mu kwogerako eri bannamawulire, Mao agambye nti abantu bonna abetaaga enkyukakyuka mu ggwanga, balina okwegatta mu 2021, okuleeta omuntu alina obuganzi eri bannayuganda okuvuganya ku bwa Pulezidenti okusobola okubaletera enkyukakyuka mu ggwanga.
Mu bigambo bye, agamba nti DP erina okuwagira omuntu yekka agwanidde era asabye abakulembeze bonna ku ludda oluvuganya okwegatta ku lwe nkyukakyuka.

Wabula DP ebadde nnyo ku lusegere lw’omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine era kigambibwa mu 2021, DP yonna egenda kuwagira Bobi wine ku bwa Pulezidenti asobole okusigukulula Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu buyinza.