Kyaddaki Edrine Katamba amanyikiddwa nga MC Kats alangiridde eri bannayuganda nti ye Omutonzi yamugaana okuddamu okutambula ne ssente mu bulamu bwe.

MC Kats ali nnyo mu mawulire annaku zino oluvanyuma lw’okulangirira nti alina sirimu sabiti ewedde era bangi ku bawagizi be bakyewunyizza nga bagamba nti Kats bw’aba mulwadde, kitegeeza ne mukyala we Omuyimbi Fille naye mulwadde.

Wabula olunnaku olw’eggulo, emmotoka ya MC Kats yafiiridde mu kkubo era yagambye nti, “yiino emmotoka yange efudde naye nze Katonda yagaana okutambula ne ssente era kati nina kuyita makanika wange“.

MC Kats agamba nti ye ayogera ne Katonde mu ngeri ez’enjawulo omuli mu birooto n’engeri endala.