Omuyimbi Fille Mutoni agumizza bba MC Kats ku laavu nti tewali muntu yenna ayinza kubawula.
Omwezi gunno ogwa December, Mc Kats abadde nnyo mu mawulire oluvanyuma lw’okulangirira nti alina akawuka akaleeta mukenenya.
Kats agamba nti abadde n’akawuka emyaka munaana (8) era abadde ku ddagala lya kinnansi.

Oluvanyuma lw’okulangirira, bangi ku bannayuganda bategeeza nti MC Kats okugamba nti mulwadde, kabonero akalaga nti ne bakyala be omuli Fille naye mulwadde.
Sabiti ewedde, Kats yategeeza nti ye mulwadde naye abakyala bonna abamuzaalira abaana n’abaana bonna, tekuli n’omu mulwadde.
Ku nsonga eyo, Fille asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okusindikira bba Kats oluyimba omujjudde obubaka bw’omukwano n’okusuubiza nti tewali muntu yenna ayinza kubawula.
Fille agamba nti tewali mbeera yonna eyinza kubasindikiriza kubawula.
Vidiyo ya Fille mu luyimba