Omuyimbi Yvonne Chaka Chaka eyabadde aleeteddwa okukyamula Ssabasajja mu lubiri e Mmengo, mu kivvulu kye Nkuuka, aganiddwa, okuyimba era atikiddwa ku nnyonyi, okumuzza mu ggwanga erya South Africa.

Chaka Chaka yatuuse mu Uganda, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo era abadde alindiriddwa akawungeezi ka leero, okukyamula Maaso Moogi mu kivvulu, ekigenda mu maaso mu Lubiri.

Wabula okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Chaka Chaka n’abategesi balemeddwa okufuna ebiwandiiko ebituufu, ebiraga nti alina okuyimba mu Uganda.

Enanga agamba nti Viza ya Chaka Chaka eraga nti yabadde aze kukyala bukyazi wabula ssi kwenyigira mulimu gwonna okuvaamu ssente omuli n’okuyimba.

Chaka Chaka yabadde aleteddwa Abbey Musinguzi (Abitex) omu ku basiinga okutekateeka ebivvulu.

Eddoboozi lya Enanga