Omuyimbi Eddy Kenzo alaze nti alina essuubi nti Rema Namakula alina okudda mu bulamu bwe wadde mu kiseera kino ali mu bufumbo bwa Dr.Hamzah Ssebunya.

Rema yasuulawo Kenzo kuba yali afunye omusajja omulala Dr.Ssebunya ategeera ensonga z’omukwano ate yali mwetegefu okukyalira abazadde era nga 14, November, 2019, yamutwala mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka.

Oluvanyuma lwa Dr. Ssebunya okutwala Rema, Kenzo yafulumya oluyimba ‘Bibaawo’, okutegeeza ensi nti wadde Rema yamusuddewo, bibaawo mu bulamu.

Mu luyimba ‘Bibaawo’, Kenzo agamba nti, “Ye maama, Nze atalina manyi galwana, Silwari, nze silina makosa, Kyemwayagaliza embazzi kibuyaga asudde, Kyemwayagala obweda yesawa mulimba, Mumukwate bulunji kyensaba bantu bange, Temunzilizanga biwompogoma, Ebikonagana nga ebye Nagalama“.

Mungeri y’emu agamba nti wadde Rema baamutwala, abantu abamutwala si balungi, “Mpuliliza baby dear abantu abo sibalunji eeh, Ba rumor monger basi baagala nyo ebiganyi balabe, Bakungobako nakiliza bakutwala, Oyo propaganda propaganda wakunkyaaya, Ka juice kalungi mutaka, baby bakakuyisa byadala, Wankyayira bwerere bwerere haaa“.

Kenzo abadde nnyo mu bivvulu ennaku zino mu Uganda kyokka ayagala nnyo okuyimba ebitundu ebyo nga bw’awoganira waggulu n’okusingira ddala mu kuyimba ebigambo, “Mpuliliza baby dear abantu abo sibalunji eeh, Ka juice kalungi mutaka, baby bakakuyisa byadala, Wankyayira bwerere bwerere, Ye maama, Nze atalina manyi galwana, Kyemwayagaliza embazzi kibuyaga asudde, Kyemwayagala obweda yesawa mulimba, Mumukwate bulunji kyensaba bantu bange, Temunzilizanga biwompogoma“.

Alaga nti alina essuubi Rema okudda kyokka alina okutya nti ayinza okudda mu bufumbo bwe nga Dr. Hamzah amumazeemu ssupu nga tewegomba kuddamu kwegatta naye.