Poliisi mu Monisipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe ekutte omusajja ku by’okusobya ku mwana oluvanyuma namutta, myaka 9 egy’obukulu.
Omwana Faridah Mbabazi abadde muyizi ku Kiryowa UMEA Primary School nga yabadde agenze mu kibiina kyakusatu (P3), yeyattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo era omulambo gwe, gwasangiddwa ku kyalo Kinyala mu Monisipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Ssezibwa Hellen Butoto, omusajja eyakwattiddwa ali ku Poliisi y’e Njeru.
Maama w’omwana Rehema Batuka, agamba nti muwala we, yabadde amusindise okukima butto ku dduuka kyokka yalabiddewo ng’omwana aluddewo okudda.
Maama agamba nti, yatambudde okunoonya omwana we kyokka yabadde akyatambula, kwekusanga emu ku siripa ya muwala we ebbali w’ekkubo.
Maama agamba nti yafunye okutya, kwekulengera omusajja eyabadde adduka era yagenze okutuuka mu nsiko waabadde, amaaso gaatukidde ku mulambo gwa muwala we ng’avaamu omusaayi mu bitundu bye kyama.
Olw’okutya, yakubye enduulu eyasombodde abatuuze, omusajja ne bamuzingako ne bamukwata ne bamukuba, era Poliisi weyatuukidde okutaasa, nga yenna atonya musaayi.
Omulambo gw’omwana gwatwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Jinja okwekebejjebwa ate omusajja mulyabuto, ali ku Poliisi ku misango gy’okusobya ku mwana omuto ssaako n’okumutta.
Ekifaananyi kya Daily Monitor