Omuyimbi Eddy Kenzo afulumidde ku lukalala lwa bayimbi 10 mu Africa abakyasinze okuyimba n’okukyamula abantu mu myaka 10 egiyise.

Olukalala, basinzidde ku bintu eby’enjawulo omuli ennyimba omuyimbi zayimbye, ensi zatambuddemu ogenda okuyambi, abantu engeri gye bamwogerako ssaako n’engeri gy’akozeemu okutumbula ekisaawe ky’okuyimba mu Africa.

Mu Africa yonna, Kenzo akutte kifo 9 ate mu East Africa yasiinze ng’adiriddwa Diamond Platnumz okuva mu ggwanga erya Tanzania nga mu Africa yonna, akutte kya 10.

Abamu ku bayimbi abasiinze Kenzo mu myaka 10 mu Africa yonna kuliko Wizkid nga yakutte ekisooka (1), Psquare (3), Davido (4), Timaya (7), Tiwa Savage (8) n’abalala.

Abayimbi abakoze obulungi, basiinze kuva mu ggwanga erya Nigeria.