Kabadde kaseera ka ssannyu, wanno ku 100.2 Galaxy FM e Kansanga, nga Tambula Columbus akwasibwa ssente shs 10,2000/= ze yawangula, oluvanyuma lw’okuteeba oluyimba olwasinga okwata abantu omubabiro omwaka oguwedde ogwa 2019, kwezo 102 ezakubibwa ku 100.2 Galaxy FM mu pulogulamu ya ‘count Down’.
Tambula y’omu kwabo, abateeba oluyimba ‘Gutujja’ olwa Rema ne B2C nga beeyambisa ennamba y’essimu eya ‘WhatsApp’, nga tumalako omwaka 2019 era olukwasiddwa ensimbi, asiimye 100.2 Galaxy FM okuba abesiimbu mu kutambuza emirimu.

Ate DJ Herbert eyakulemberamu okuzannya ennyimba zonna n’okunoonya omuwanguzi, agambye nti abantu abasukka mu 80 bateeba oluyimba ‘Gutujja’ kyokka mu kweyambisa Kampyuta okunoonyako omuwanguzi omu, omukisa gwagudde Columbus.

Ssente zimukwasiddwa akulira obwa kitunzi ku 100.2 Galaxy FM DJ Nimrod era agambye nti buli mwaka, Galaxy FM erina enkola ez’enjawulo mweyita okuddiza ku bantu nga n’okuteekawo enkola omuntu yenna okuteeba oluyimba lw’omwaka, kikolebwa okuddiza abawuliriza laadiyo.