Abamu ku basibe
Abamu ku basibe

Mu ggwanga Uganda okulya ebisiyaga kimenya amateeka era singa omuntu yenna akwatibwa, tewali kulonzalonza asindikibwa mu kkomera e Luzira.

Kyoka obadde okimanyi nti okulya ebisiyaga kweyongedde n’okusingira ddala mu makkomera agenjawulo.

Dr Johnson Byabasaija
Dr Johnson Byabasaija

Ekyama kino kibikuddwa akulira amakkomera mu ggwanga Dr Johnson Byabasaija, nategeza nti omugoteko mu makkomera kiviriddeko ebisiyaga okweyongera okusasaanya akawuka ka mukenenya.

Abakulu okuva mu bitongole ebikuuma ddembe , omuli Poliisi , Amagye n’amakkomera beeyamye okwongera okuteeka ensimbi mu kulwanyisa akawuka ka mukenenya mu ggwanga lino.

Bino okubyogera babadde mu lukungana olwayitiddwa okumanya embeera akawuka ka mukenenya gye kalimu mu bitongole ebikuuma ddembe, olwategekeddwa ekitongole ekirwanyisa siriimu ekya Uganda Aids Commission mu Kampala.