
Munnakatemba Kabata abikudde ekyama nti mu Uganda, Bebe Cool yasinga omutima omulungi mu bayimbi era agwanidde ebirungi byonna.
Kabata agamba nti Bebe Cool musajja ayagala eggwanga lye ate ayagaliza nga buli mwaka asobodde okuyamba abaana abalwadde omuli abalwadde b’emitima.

Agamba nti abayimbi bangi bakoze ebivvulu ne bafuna obukadde bwa ssente omuli ne ssenkulu wa ‘People Power’ kyokka ssente balya bokka nga balemeddwa okuyamba omuntu yenna, ekiraga nti tebalumirirwa muntu yenna wadde befuula abalina omutima omulungi.
Kabata era alabudde abawagizi b’ekisinde kya “People Power” abasuubira okkola efujjo mu kivvulu kya Bebe Cool obutalinya Kiwatule nga 26, December, 2018 kuba tebajja kubakiriza kukola ffujjo.

Ku nsonga y’ekivvulu, Kabata agamba nti omwaka 2018, Bebe Cool ye muyimbi agenda okusinga okufuna abantu abangi e Kiwatule kuba okuwangula award ya ‘AFRIMA’, kabonero akalaga nti mu East Africa yasinga okuyimba ate alina abawagizi bangi nnyo abategeera omulamwa gwe n’ensonga ze.