• 343
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
    343
    Shares

Embeera etabukidde Sheikh Umaru e Nansana, omuwala gweyazaalamu omwana bw’amusuulidde omulambo.

Omuwala Najjuma nga mutuuze we Kawempe Kirokole agamba nti okusoma yakoma mu S3 natandika okunoonya emirimu era kwekugenda ewa Sheikh Umaru okumuwa emikisa okusobola okufuna ssente.

Sheikh Umaru
Sheikh Umaru

Najjuma agamba nti Sheikh Umaru yamusaba enjala n’okuyoyoota ebitundu by’ekyama oluvanyuma namukozesa nga takyategeera.

Mungeri y’emu agambye nti Sheikh Umaru yagaana okujanjaba omwana okutuusa lwe yafudde ku myezi 9.

Abatuuze nga bakulembeddwamu Kansala Mohammed Ssegirinya owe Kawempe North ku lukiiko lwa KCCA basuulidde Sheikh Umaru omulambo mu makaage e Nansana kyokka Poliisi yayitiddwa okuyingira mu nsonga.

Sheikh Umaru, abatuuze ne Poliisi bakiriziganyiza omulambo okuzikibwa mu limbo y’abasiramu e Nkoowe era kyekyakoleddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri.


  • 343
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
    343
    Shares