Bya Nalule Aminah

Andrew Benon Kibuuka, Ssentebbe w’ekibiina ekigatta abayimbi ne bannakatemba ekya Federation of Performing Artistes of Uganda (FPAU), atabukidde  abategesi b’ebivvulu abamwogerako nti ye ne banne bawereddwa akawumbi kamu okusasula abantu.

Okuva sabiti ewedde, amawulire gabadde gayitingana nti Kibuuka ne banne omuli Tonny Ssempijja n’abantu abalala, baatukirira omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ne bamusaba okuyamba abategesi b’ebivvulu abalina amabanja oluvanyuma lwa Poliisi okulemesa ebivvulu byabwe.

Ebimu ku bivvulu ebyasazibwamu Poliisi ku ssaawa envanyuma, Bobi Wine yali omu ku bayimbi abaali balangiddwa okusanyusa abadigize n’okusingira nga tusemberedde okutuuka mu nnaku za Ssekukkulu n’okumalako omwaka ogwa 2018.

Abategesi b’ebivvulu baatabuka olwa Poliisi okubalemesa ebivvulu byabwe ate nga ssente bazeewola mu zi bbanka n’abantu abenjawulo.

Kigambibwa embeera eyo, Kibuuka ne banne y’emu ku nsonga lwaki batuukirira Pulezidenti Museveni okuyamba, okutaasa abategesi b’ebivvulu abaali abatubidde mu mabanja.

Amawulire galaga nti Pulezidenti Museveni yawa Tonny Ssempijja ne banne ssente ezitamanyiddwa muwendo, okudiizza abategesi b’ebivvulu okusobola okusimatuuka amabanja.

Kigambibwa abamu bafuna ssente kyokka abalala omuli J  uma Balunywa owa Balunywa Promotions ne Andrew Mukasa owa Bajo events tebafuna wadde 100 wadde bafiirwa ssente zabwe era ne balumiriza Kibuuka ne banne okulya ssente zabwe.

Enkya ya leero, Kibuuka agambye nti tafunangako wadde omunwe gw’ennusu okuva mu State House  okusasula abategesi b’ebivvulu era talina ssente zabwe.


  • 69
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
    69
    Shares