Kyaddaki omuyimbi Chagga ayogedde ebyewunyisa ku mugenzi Mowzey Radio.

Sabiti ewedde ku Lwokutaano nga 1, Febwali, 2019, gwaweze omwaka mulamba bukya Radio aziikibwa.

Mu kiseera kino, omuvubuka Godfrey Wamala amanyikiddwa nga Troy yakwatibwa ku misango gy’okutta Radio era yasindikibwa ku limanda mu kkomera e Luzira.

Chagga agamba nti Radio yali malayika mu kisaawe ky’okuyimba kuba yali alina talenti, bannayuganda kyebatamanya mu bulamu bwe.

Omugenzi Mowzey Radio
Omugenzi Mowzey Radio

Agamba nti abantu bangi nnyo bafuna abakyala n’abasajja nga kivudde ku nnyimba z’omugenzi Radio, ekiraga nti yali malayika eyakola ebintu ebisukkiridde ennyo.

Chagga era agamba nti Radio yamwesiga okuba manejja wa Goodlyfe kuba yali musajja mukozi ate yalina esuubi okutumbula talenti ye.

Chagga ayogedde ku nnyimba z’omugenzi ezimu era Poliisi esobola okumweyambisa mu kunoonyereza ku bigambibwa nti waliwo abayimbi abenyigira mu kubba ennyimba z’omugenzi kuba y’omu ku bavunaanibwa.