Bya Nalule Aminah

Kyaddaki omukyala eyakwatibwa ku by’okuyonsa omwana wa neyiba ate ng’alina akawuka akaleeta mukenenya, atwaliddwa mu kkooti enkya ya leero wakati mu byokwerinda.
Sharon Muhindo nga mutuuze w’e Nabweru, yakwatibwa sabiti ewedde, oluvannyuma lw’abatuuze banne, okwekubira enduulu ku Poliisi nga bw’aludde ng’ayonsa omwana wa neyiba we.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Oweyesigyire, omukyala Muhindo yakebeddwa ng’alina akawuka akaleeta mukenenya, era enkya ya leero, asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti e Nabweru ku misango gy’okulagajjalira omwana, ekyali kiyinza okuvaako omwana okulwala.
Kigambibwa Muhindo yasangibwa lubona ng’aliko omwana wa munne gw’ayonsa.
Mungeri y’emu sabiti ewedde, Shakirah Tushemeirirwe maama w’omwana yategeeza nti omwana, yateekeddwa ku mpeke za ARV’s eziweweeza abalina sirimu, ekiraga nti omwana we yalwala dda.