Poliisi y’e Kitagwenda eri mu kunoonyereza ku bantu babiri (2) abattiddwa emirambo gyabwe ne gisuulibwa mu kubira nga gitemeddwako emitwe.

Ebiwuduwudu kubaddeko eky’omusajja n’omukyala wakati w’emyaka 20 kwa 30 nga bitandiise okuvunda.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwenzori, Lydia Tumushabe, ebiwuduwudu bisangiddwa mu kibira kye Kikoyo ku luguudo oluva e Kabujogera – Kitagwenda.

Poliisi egamba nti etandiise okunoonya emitwe gy’abantu abattiddwa ssaako n’okunoonya abatemu.

Tumushabe era agambye nti n’ensonga eyaviriddeko omusajja n’omukyala okuttibwa temanyikiddwa, wabula Poliisi etandiise okunoonyereza.

Wabula abamu ku batuuze bagamba nti obwenzi eyinza okuba emu ku nsonga lwaki abantu abo battiddwa.