Omusawo wa Gavumenti Musa Kirya alumiriza Ibrahim Kaweesa amanyikiddwa nga Tetemwe okwenyigira mu kutta abakyala mu disitulikiti y’e Wakiso.

Kirya alabiseeko mu maaso g’omulamuzi Damali Lwanga n’obujjulizi okulaga nti Kaweesa yenyigira mu ttemu.

Kaweesa yasingisibwa dda emisango gy’okutta Annet Nakabugo nga 23, September, 2019 nasindikibwa e Luzira obulamu bwe bwonna wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Ivan Ndiwalawa lugamba nti alina emisango emirala omuli okwenyigira mu kutta omukyala Stella Nanfuma.

Kigambibwa nga 25, May, 2017 mu bitundu bye Kakiri mu disitulikiti y’e Wakiso, Kaweesa ng’ali ne banne okuli  Eric Ssegawa, Isma Nyanzi, Suhairi Wakita n’abalala abakyaliira ku nsiko batta Nanfuma oluvanyuma lw’okumutuga nga bamusobezzaako kirindi.

Mu kkooti, omusawo Kirya agambye nti obujjulizi bwonna bulaga nti Kaweesa yenyigira mu kutta Nanfuma n’okumusobyako.

Agamba nti ndaga butonde (DNA) ku mazzi g’ekisajja agaasangibwa ku mulambo, agaasangibwa mu kondomu okumpi n’omulambo ssaako ne jjaketi, biraga nti Kaweesa yali omu ku batemu.

DNA era ziraga nti ne Wakita naye alina akakwate ku by’okutta n’okusobya ku Nanfuma kyokka omusawo Kirya alemeddwa okulaga kkooti nti Isma Nyanzi naye yenyigira mu ttemu.

Omulamuzi Lwanga ayongezaayo omusango okutuusa nga 3, December, 2019 oludda oluwaabi okuleeta abajjulizi abalala.

Abamu ku bakazi basonsekebwa ebiti mu bitundu byekyama oluvanyuma lw’okutibwa nga basobezeddwako.