Omusirikale myaka 26 asindikiddwa ku Limanda mu kkomera e Luzira ku misango gy’okusobya ku mwana myaka 5.

Police Constable John Nelson Okalebo eyali omusirikale ku Poliisi y’e Nateete asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Elizabeth Kabanda mu musango gw’okujjula ebitanajja.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, wakati wa November ne December 2017 ku kitebe kya Poliisi e Nateete mu Kigaga zone, omusirikale Okalebo yasobya ku mwana wa muganzi we.

Kigambibwa Okalebo yayita omwana mu nju ng’amusuubiza okumugulira chipusi ne Sooda kyokka olwatuuka mu nju namusobyako.

Maama w’omwana yaddukira ku Poliisi y’e Nateete okuyambibwa nga muwala we ali mu maziga n’okuvaamu omusaayi mu bitundu by’ekyama.

Wabula mu kkooti, omusirikale Okalebo yegaanye omusango gw’okusobya ku mwana omuto.