Ebintu bya Bukadde bitokomose, Omuliro bwe gusanyizaawo Soft Supermarket mu Monisipaali y’e Mukono era bintu byonna, ebyasuubuddwa okutundibwa mu nnaku enkulu bisigadde vvu.

Soft Supermarket y’omu ku ssemaduuka abadde asinga amaannyi mu katawuni k’e Wantoni ku kizimbe kya Ssonko era omuliro gugikutte ku ssaawa 8 ez’ekkiro.

Omu ku baddukirize David Mawako agambye nti ekintu kibwatuse omulundi gumu, ekivuddeko omuliro era ebintu byonna omuli firiigi, kompyuta, Kkamera eza CCTV n’ebirala bisanyiziddwawo.

Ate Amos Tukamushaba nga naye mutuuze mu kitundu agambye nti Supermarket yabadde nzigale nga tebasobola kuyingira kuzikiza muliro.

Steven Mulaari, manejja wa supermarket ekutte omuliro agambye nti babadde basuubudde emmaali ya bukadde obusukka mu 300 okwetegekera ennaku enkulu.

Ku nsonga eyo, akuliddemu Poliisi y’abazinya mwoto okuva ku Poliisi y’e Mukono, Sunday Buchana agambye nti abatuuze okulwawo okuteegeeza ku Poliisi y’emu ku nsonga lwaki balwawo okutuuka okuzikiza omuliro.

Buchana alabudde abatuuze okufuna ennamba za Poliisi ez’essimu, kibayambeko okuwuliziganya na buli omu singa wabaawo omuliro gwonna.