Wamala Assadu, nnyini Ssomero lya Wamala Secondary School e Mpambire mu disitulikiti y’e Mpigi abadde amaze ebbanga ng’anoonyezebwa oluvannyuma lw’ebigambibwa nti yenyigira mu bikolwa eby’okukabasanya abayizi, kyaddaaki akwatiddwa.
Ono asangiddwa mu maka ga Kitaawe e Kikyusa mu disitulikiti y’e Nakaseke nga kigambibwa nti gy’abadde yekukumye.


Kigambibwa nti yasobya ku bayizi abasukka mu 10 wabula abamu ne batya okwogera ng’abayizi babiri bokka be baavaayo ne boogera engeri gye baasobezebwamu nga Wamala abayita okuva mu bisulo byabwe.
Wiiki ewedde Pulezidenti Museveni bwe yali asisinkanye abakulu mu poliisi, yalagira omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola okukwata Wamala oluvannyuma lw’okusoma amawulire nga gamuwandiseeko nti yasobya ku bayizi mu ssomero lye.
Assad Wamala kati alindiriddwa kutwalibwa mu Kkooti abitebye.
Okusinzira ku mwogezi w’ekitongole ekikesi ekya Criminal Investigations Directorate –CID Charles Twine, fayiro y’emisango gya Assadu esindikiddwa eri ssaabawaabi wa Gavumenti okugyekeneenya.