Bya Nalule Aminah

Wamala Assadu, nnyini Ssomero lya Wamala Secondary School e Mpambire mu disitulikiti y’e Mpigi, awuninkiriza ekitongole ekya Poliisi bwategeezeza nga bwe yafa amaka, tasobola kuyimuka mu nsonga z’omukwano.

Wamala yaddamu okwatibwa sabiti ewedde nga yekwese maka ga kitaawe e Kikyusa mu disitulikiti y’e Nakaseke ku misango gy’okusobya ku baana abato.

Kigambibwa, yasobya ku bayizi abasukka musanvu (7) wabula abamu ne batya okuvaayo okuwa obujjulizi ng’abayizi babiri (2) bokka be baavaayo ne boogera engeri gye yabasobyako nga Wamala abayita okuva mu bisulo byabwe obudde obw’ekkiro.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Wamala yagiddwako sitatimenti, era yagambye nti ye, obusajja bwe tebukyayimuka nga tewali ngeri yonna gyasobola kudda ku mwana muto wadde omukyala yenna okwegadanga.

Enanga agamba nti Wamala atwaliddwa mu ddwaaliro okwekebejjebwa oba ddala tayimuka ku nsonga z’omukwano.

Okunoonyereza singa kuggwa, Wamala bamutwala mu kkooti essaawa yonna.