Poliisi y’e Hoima ekutte omukadde myaka 70 ku by’okusobya ku muzukkulu we myaka 5 egy’obukulu.

Omukadde Keya Kafeero nga mutuuze ku kyalo Buhirigi mu ggombolola y’e Bombo mu disitulikiti y’e Hoima yakwattiddwa.

Kigambibwa, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, maama w’omwana, yamusindise okukima esowaani ewa jjajja we kyokka yamulinze nga takomawo.

Maama, yagenze okukima ku muwala we, kyokka amaaso gaatukidde ku mukadde Kafeero ng’ali ku mwana amusobyako.

Yakubye enduulu, eyasombodde abatuuze era omukadde Kafeero yakubiddwa emigo ssaako n’ensambaggere, okutuusa lwe yazirise.

Ssentebbe w’ekyalo yasobodde okutaasa omukadde obutattibwa era yatwaliddwa ku Poliisi y’e Kigorobya wakati mu batuuze okulemerako nga baagala okumutta.

Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine, agambye nti Kafeero wadde akuliridde, bakumutwala mu kkooti ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.