Kyaddaki Poliisi ezudde omusajja eyakubye abantu amasasi mu bbaala e Nakulabye ku ssande ewedde, nga 9, February, 2020.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, omusajja ategerekese nga Ronald Mpola nga muntu wa buligyo kyokka yaliko omukuumi mu ggwanga erya Iraq mu kitongole ky’obwananyini.

Poliisi egamba nti, Mpola aliira ku nsiko mu kiseera kino kyokka ali mu kunoonyezebwa akwatibwe ku misango gy’ogezaako okutta abantu ssaako n’okuzuula emmundu eyakozeseddwa.

Mpola, yalumbye ebbaala eya Gelop e Nakulabye era yakubye abantu 3 amasasi nga yeefudde omujjasi mu kitongole ekya UPDF.

Abaalumiziddwa kuliko manejja w’ebbaala Geoffrey Burora, Geoffrey Lubi ne Duncan Kahe.