Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kashenyi mu ggombolola y’e Kamuganguzi mu disitulikiti y’e Kabale, ssemaka Michael Besigye myaka 63 akedde kumakya ogenda okwetawuluza ku ssaawa 11:00 ez’okumakya, bw’attiddwa mu ngeri y’obukambwe.

Omulambo gwa Besigye, gusangiddwa mu kitaba ky’omusaayi ng’asaliddwa obulago nga beyambisa ejjambiya.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, omukyala akanze kulinda musajja kudda mu nnyumba nga takomawo, agenze okufuluma, amaaso gatuukidde ku mulambo gwa bba emanju wa kabuyonjo.

Maate agamba nti Poliisi eyitiddwa era ejjambiya ezuuliddwa mu kabuyonjo nga yonna ebunye omusaayi.

Mungeri y’emu agambye nti Poliisi wetuukidde, ng’omulambo gugiddwa emanju wa kabuyonjo, engoye z’omugenzi nga zikyusiddwa, ez’omusaayi zoozeddwa, aba famire nga bagamba nti omugenzi yandibanga yakutte ejjambiya ne yeesala obulago wabula Poliisi etandiise okunoonyereza.