Omusirikale Augustus Turyatunga akulira Poliisi y’e Kigorobya mu disitulikiti y’e Hoima akwattiddwa ku misango gy’okuyambako omusibe okutoloka, eyabadde akwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.

Kigambibwa Turyatunga yayambyeko omusibe Keya Kafeero myaka 70 okutoloka, eyabadde akwattiddwa akawungeezi k’olunnaku olwa Mmande ku misango gy’okusobya ku muzukkulu we myaka 5.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Albertine, Julius Hakiza, omusibe Kafeero, yadduse mu ddwaaliro erya Kigorobya Health Center IV gye yabadde atwaliddwa akawungeezi k’olunnaku Olwokubiri, oluvanyuma lw’okukubwa abatuuze bwe yasangibwa ng’asobya ku mwana omuto.

Hakiza agamba nti omusirikale Turyatunga, yalagiddwa okulemberamu okukuuma omusibe kyokka yalemeddwa wadde okumuteekako empingu ng’ali mu ddwaaliro, ekiraga nti yabadde ku lukwe.

Mu kiseera kino, Turyatunga akwattiddwa ku misango gy’okulagajjalira omulimu gwe n’okuyambako omusibe, okutoloka.

Ate Omusirikale Turyatunga agamba nti omusibe yabadde yakubiddwa nnyo nga yetaaga obujanjabi mu bwangu kyokka naye yewunyiza engeri gye yavudde mu ddwaaliro.