Abantu 15 bafiiridde mu kabenje k’emmotoka ku kyalo Imanyiro ku luguudo oluva e Musita-Lumino mu disitulikiti y’e Mayuge.

Abafudde, bonna basuubuzi mu Tawuni Kanso y’e Namayingo nga bonna babadde mu takisi namba UBD 089A ku ssaawa 11 ez’okumakya ga leero.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga East, James Mubi, takisi ebadde ku misinde okuva e Namayingo okudda mu Kampala, eyingiridde Tata y’ebikajjo ebadde epaakinze ebbali w’ekkubo namba UWP 616 ku kyalo Imanyiro.

Mubi agamba nti takisi yonna abagibaddemu bafudde era emirambo gitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaaliro e Mayuge okwekebejjebwa nga ne Poliisi bw’enoonyereza ekivuddeko akabenje.


READ  Poliisi y'e Buikwe ekutte omuwala ku by'okubba omwana myezi 7, ebyama bizuuse - Audio