Poliisi mu bitundu bye Ayepe mu ggwanga erya Nigeria, ekutte omuwala ku by’okutta muganzi we.

Omuwala ategerekeseeko erya Bose yakwattiddwa ku by’okutta muganzi we, bwe yakutte akambe namutunga ku nsingo.

Ku Poliisi, omuwala agambye nti muganzi we, yabadde amulemeddeko okumusobyako era yakutte akambe namusuubiza okumutta singa agaana okusinda omukwano.

Omuwala era agambye nti muganzi we, yamusindise ku kitanda era yabadde asembedde okumusobyako, kwe kumusindika kyokka ekyambi, ensingo yatuukidde ku kambe.

Omusajja yafiiriddewo era omuwala akwattiddwa ku misango gy’obutemu.

Poliisi etandiise okunoonyereza ku misango gy’obutemu.